MyLyricsFinder

Lyrics

Laaaa Waguan Laaa, eeeh Wano emirembe gyaliwo Emirembe gyaliwo gwe jangu nkubuulire Wano akamwanyi kaaliwo Wano akamwanyi kaaliwo nga tumanyi okukalima Ne ka moringa kaaliwo Ne ka vanilla kaaliwo nga ne ka ppamba tulima Bano abasajja baggyawo Bano abasajja baggyawo era byonna okubizisa Ate gwe olubagambako Ate gwe olubagambako, nti obwo buyaaye bwakubwa Buli kimu bakimanyi Ebitunyiga babimanyi baasalawo okusirika Eh gwe olubagambako Eh gwe olubagambako, ng'empingo ziruma Wano enguudo ezaaliwo Wano enguudo ezaaliwo laba zonna okubomoka Buli omu ali ku lulwe Bategeka bugagga bwabwe abasajja baatuta Emiranga egiriwo Emiranga egiriwo bano abasajja bakyunya Twagala batuleke Twagala bagende kati plan tusala Bannange batuli bubi Bannange batuli bubi, teri alina mirembe N'akatono k'olina N'akatono k'olina, bali ready okukakomya N'obulamu bw'olina N'obulamu bw'olina, tebeeguya era balumwa N'embwa zaabwe zoogera! N'embwa zaabwe baaziwa emirimu era mbu zikola! Olaba amasomero Amasomero mwalimu education naye yafa Byonna ne babizisa Byonna ne babizisa, ffenna nga tulaba Buli kimu bakimaze Buli kimu bakimazeewo eggwanga lizika Ekimala kimala (mutuleke) Kimala (tusaba mutuleke) Bye mubbye bimala (mutuleke) Bimala (tusaba mutuleke) Tuli mu miranga (mutuleke) Wulira emiranga (tusaba mutuleke) Mwatulimba (mutuleke) Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke) Bakulu bannammwe baatuwarninga Baatugamba nti abo abasajja beecanga Bannammwe baatuwarninga Nti akaseera kalituuka abo abasajja okwecanga Era akaseera maama kaatuuka Buli kyaliwo maama kyakyuka Emirembe egyaliwo bye gyakyuka Kati buli wamu emmundu zeesooza N'olaba abakulu bwe bakaaba N'olaba abavubuka, abato bwe bagakaaba Ka sukaali n'okakaaba Akava, akamere nako n'okakaaba kati Buli kimu ne tukikaaba Nga be tukaabira bali mu kukola bubaga yiii! Emirimu ne bagiwamba Okula n'obuuza ngenda kukola ki? Amateeka baagakyusa Amateeka batwalira na mu ngalo kati! Bano abasajja tubakooye Njagala mufungize era tubagobe kati Ekimala kimala (mutuleke) Kimala (tusaba mutuleke) Bye mubbye bimala (mutuleke) Bimala (tusaba mutuleke) Tuli mu miranga (mutuleke) Wulira emiranga (tusaba mutuleke) Mwatulimba (mutuleke) Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke) Ekimala kimala (mutuleke) Kimala (tusaba mutuleke) Bye mubbye bimala (mutuleke) Bimala (tusaba mutuleke) Tuli mu miranga (mutuleke) Wulira emiranga (tusaba mutuleke) Mwatulimba (mutuleke) Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke) Maama n'akaaba (mutuleke) Nga ne taata akaaba (tusaba mutuleke) Jajja n'akaaba (mutuleke) Nga ne neighbour akaaba (tusaba mutuleke) Owa boda n'akaaba (mutuleke) Nga n'omusuubuzi akaaba (tusaba mutuleke) Buli omu n'akaaba (mutuleke) Temulina kisa alaali (tusaba mutuleke) Ekimala kimala!

Can't get it out of your head? Play “Kimala” yourself.